Bats have established big colonies in some local health centres in Gomba


I find the story below from a local Ugandan daily quite disturbing. Bats have established big colonies in some local health centres in Gomba under the watch of full-time public health officials on government payroll,one would assume.

One would also assume that healthcare professionals in the affected area had seen the first sign of bat invasion and did nothing; then more and more signs, including parts of hospital walls crumbling down due to flying mammal urine effects, and they still did nothing. Yet they report for duty on a daily basis. If that is not negligence in the first degree, I don’t know what is. To make matters worse, now they have brought in Europeans to solve the problem (I suppose) when surely plenty of expertise is available at Makerere University and elsewhere in the country. The other time, Europeans and others were dispatched to Busoga area to show people how to get rid of jiggers, including ‘okutundula’. These shameful practices need to stop if our communities are to be respected.

By the way, when it comes to annual public service employee performance evaluation, what do these people’s supervisors honestly put in their staff performance reports? Or even before one gets to that point, is it clear to anyone what these people really talk about in their weekly (biweekly or monthly) hospital management meetings if such unpleasant things remain undealt with year in, year out?

Yunus Lubega.
Canada.

*** ***

Obuwundo buzinze amalwaliro e Gomba
Gomba | Jul 21, 2014Ekituli ekivudde ku buwundo okuba obungi.

Bya ANDREW MUGONZA

OBUWUNDO bulumbye disitulikiti y’e Gomba ne bukola amaka mu malwaliro era obumu ku bulabe bwe buleese bugenda kugasuula n’okulwaza abantu.

Mu malwaliro agamu, amatoffaali agali mu ppini gagudde ekitadde obulamu bw’abasawo n’abalwadde mu matigga. N’ennyumba z’abasawo nazo ebisenge binafu olw’obuwundo obubifukira.

Abasawo bategeezezza nti, waadi ziwunya omusuulo gw’obuwundo, amatoffaali gawanuka waggulu ne gagwa eky’obulabe era amalwaliiro agamu ppini zaago temukyali matoffaali.

Bawanjagidde abakulembeze mu disitulikiti y’e Gomba okulaba nga babayamba ku kizibu ky’obuwundo. Kuno kwe bagatta ebizibu ebirala.

BUYANJAHEALTH CENTER II
Eddwaaliro lino lisangibwa mu ggombolola y’e Maddu nga ly’erimu erisinze okukosebwa obuwundo. Ebisenge bizzeemu ennyaafa ate nga amatoffaali mu ppini agasinga gagudde.

Ennyumba z’abasawo nazo obuwundo bwazizinda ziwunya munda era zirimu ennyaafa.

Mu waadi y’abalwadde abaabulijjo abasawo tebakyassaawo balwadde nga batya nti bayinza okwongera okufuna obulwadde obulala obuva ku buwundo.

Nga oggyeeko obuwundo, mu ddwaliro lino teririna kikomera era ebisolo by’omu nsiko bibatawaanya ate n’ente z’oku kyalo ziyingira.

MAMBA HEALTHCENTER II
Lino liri mu ggombolola y’e Kyegonza era nalyo obuwundo bwalirumba dda era waliwo n’ebisenge ebitakyakozesebwa olw’obuwundo.

Abasawo bagamba nti, basanga obuzibu mu kutereka eddagala kuba obuwundo bufuka nnyo. Okufaananako n’ery’eBuyanja eddwaliro ly’e Mamba nalyo teririna masannyalaze.

Abasawo ku ddwaaliro ly’e Mamba bagamba nti liriraanye ennyanja Wamala era bafuna abalwadde bangi kyokka nga terifuna ddagala limala ate engeri gye liri ku ddaala erya wansi erimu ku ddagala tebalibawa.

Amalwaliro amalala agalimu obuwundo kuliko Kitwe, Kasabya, Kyayi ne ofiisi za disitulikiti e Kyegonza.

Dr. Nicholas Kizito agamba nti waliwo obulwadde obuleetebwa obuwundo nga kuliko ‘rabies’ nga buno bukwata omuntu singa akawundo kamuluma, okumukwagula oba okumugwa mu kiwundu.

Ayongerako nti wliwo obulala obuyitibwa ‘Histoplasmosis’ buno buyita mu mpewo era bwangu nnyo okukwata omuntu singa abeera mu kifo ewali obuwundo.

Advertisements

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s

%d bloggers like this: